Ezekiel 37:15-28

Eggwanga Limu Lifugibwa Kabaka Omu

15Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 16 a“Omwana w’omuntu ddira omuggo owandiikeko nti, ‘Guno gwa Yuda n’Abayisirayiri abakolagana nabo.’ Oddire n’omuggo omulala owandiikeko nti, ‘Guno muggo gwa Efulayimu owa Yusufu n’ennyumba ya Isirayiri yonna, bwe bakolagana.’ 17 bBagatte bafuuke omuggo gumu, bafuuke omuntu omu mu mukono gwo.

18 c“Awo abantu bo bwe bakubuuzanga nti, ‘Amakulu ga bino kye ki?’ 19 dObategeezanga nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Ndiddira omuggo gwa Yusufu oguli mu mukono gwa Efulayimu, n’ebika bya Isirayiri n’abo bwe bakolagana, ne mbigatta ku muggo gwa Yuda, bafuuke omuntu omu mu mukono gwange.’ 20Balage emiggo gy’owandiiseeko, 21 eobagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. 22 fNdibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. 23 gTebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. 

24 h“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. 25 iBalibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. 26 jNdikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. 27 kEkifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. 28 lAmawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

Copyright information for LugEEEE